Katikkiro nga ayogera n'omukungu w'eby'obulamu
Katikkiro ne Baminisita ba Kabaka bafunye omusomo ku kwetangira n'okugoba obulwadde bw'omusujja oguleetebwa ensiri mu Buganda ne Uganda.
Dr. Daniel Kyabayinze okuva mu Minisitule y'ebyobulamu mu Gavumenti ya wakati, yabasomesezza kulwa Dr. Diana Atwine omuteesiteesi omukulu mu Minisitule y'ebyobulamu atasobodde kubeerawo.
Dr. Kyabayinze agamba nti omusujja gw'ensiri mu Buganda gukendedde ddala, naye wakyaliwo obwetaavu obwokukubiriza abantu okubeera abayonjo, okusula mu butimba bw'ensiri, n'okulongoosa webasula.
Yebazizza obwakabaka okubakwatizaako mu kaweefube w'okugaba obutimba bwensiri. Naye n'ategeeza nti bangi babukozesa bubi omuli okuvuba, okulundiramu enkoko, n'okusiba kadaali.
Bbo nga Gavumenti balina ekigendererwa eky'okulaba nga omwaka gwa 2030 wegutuukira nga omusujja gw'ensiri guweddewo mu ggwanga.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asinzidde mu musomo guno, n'asaba abantu bakozese bulungi obutimba, ssi bwa kadaali, okuvuba, okulundiramu enkoko, oba okukamuliramu obutunda, ate bwe buyulika ba butunge.
Ensonga y'okwejjanjaba nga tebafune magezi kuva mu bakugu nakyo agambye nti kikyamu, basaanye bagende basooke bakeberebwe olwo balyoke bafune obujjanjabi obutuufu.
Kaweefube ono wa kwongera okutumbula eby’obulamu n'okulwanyisa omusujja gw'ensiri mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka, ba Jjajja Abataka Abakulu ab'obusolya ne ba Katikkiro b'Ebika wamu n'Abaami b'e Ggombolola mu Kyaddondo, nabo basomeseddwa ku bulabe obuli mu musujja gw'ensiri.