Oweek Serwanga ng'asomesa abavubuka ku kwekulakulanya
Minisita w'Abavubuka, Emizannyo, n'Ebitone, Oweek. Robert Serwanga, aguddewo omusomo gw'okubangula abavubuka ku kulunda enkoko mu butongole, nga gwetabiddwamu abavubuka abasoba mu 50, era nga gwategekeddwa ku Biwooma Poultry esangibwa e Gayaza Namayina.
Minisita asabye abavubuka okulwanyisa obwavu nga bbettanira ebyobulimi n'obulunzi eby'omulembe.
Abavubuka nga bali mu musomo gwo kwekulaakulanya
Minisita Serwanga asinzidde mu musomo guno n'akubiriza abavubuka okuva mu by'okulera engalo wabula babeere n'obuyiiya naddala nga bajjumbira obulimi n'obulunzi obw'omulembe, bano era abasabye omulimu gwonna gwe beenyigiramu okufaayo okubeera n'ebitabo kwe balondoolera entambula yaagwo kibayambeko okumanya kye bafunamu oba kye bafiirizibwa.
Omusomo guno gwakumala ennaku 5 era Minisita ategeezeza nti Minisitule ekyagenda mu maaso n'okusakira Abavubuka ebintu eby'enjawulo okulaba nga bakyusa embeera y'obulamu bwabwe.