Muky.Sarah Nakku
Muky. Sarah Nakku okuva mu @UNAIDS_UG ne Ssenkulu wa Majestic Brands Brands Remmie Kisaakye bakyaziddwako ku leediyo y'obujjajja @cbsfm_ug okwogera ku nteekateeka z'emisinde.
Muky. Nakku asabye abantu abalina obusobozi okwogerako eri abalala, okulyeyambisa okwogera ku Ebyobulamu naddala obulwadde bwa Mukenenya, wano weyeebaliza Obwakabaka olw'okufangayo ku bulamu bwa bantu era asabye abantu okujjumbira enteekateeka zonna.
Omuk. Remmie Kisaakye ye asabye abantu okwetaba mu misinde gy'amazaalibwa ku lw'omulamwa "Abaami tubeere basaale mu kulwanyisa mukenenya tutaase omwana ow'obuwala"