Kabaka Mutebi II gwe mumuli mu kulwanyisa mukenenya mu Africa. Leero nga twefumiitiriza ku bulwadde bwa mukenenya mu nsi yonna, tukujjukiza bino:
- Okwekebeza okumanya bwoyimiridde
- Okwekuuma eri oyo atalina bulwadde
- Okufuna obujjanjabi eri asangiddwa n'akawuka
- Obutasosola balwadde
- Abalwadde obutasiiga batalina
Ffenna wamu tusobola okukomya okusaasaana kw'akawuka akaleeta mukenenya. Ensi esobola okumalawo obulwadde bwa mukenenya nga 2030.