Omukulu w'Ekika kye Ngabi, Owek. Wamala, wakati n'Omutaka Nnamwama, Omukubiriza w'Abataka
Minisita Anthony Wamala ow'Obuwangwa n'Ennono atuuse ku mukolo gw'okulayiza obukulembeze bw'Ekika kye Ngabi Nnyunga ogutegekeddwa ku Byandala Plaza e Katwe ewali ne woofiisi z'Ekika kino.
Minisita atambudde n'Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, baaniriziddwa Omukulu w'Ekika, Omutaka Kannyana Daniel Kiwana.
Minisita w'Obuwangwa n'Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala agamba nti abantu bangi bavvoola Obuwangwa olw'obutafaayo kumanya makulu gaabwo. Agamba nti abantu bangi bwe bawulira ekigambo Obuwangwa, balowooza bya kusamira abalala babiyita bya sitaani ekitali kituufu!
Abakulembeze b'Ekika kye Ngabi nga bakuba ebirayiro
Annyonnyodde nti obuwangwa kitegeeza ennambika oba enneeyisa eyawula abantu ab'Eggwanga erimu ku ddala, era mu binyonyola obuwangwa mulimu olulimi, emmere eriibwa n'etaliibwa, entuuma y'amannya n'ebirala okugeza mu buwangwa bw'Abaganda waliwo emmere eriibwa n'etaliibwa ate era n'amannya agatuumibwa nga byawukanira ddala ku by'abantu abalala.
Bino abyogeredde Katwe mu ggombolola Makindye Mutuba III, Kyaddondo ku mukolo gw'okulayiza obukulembeze obuggya obw'Ekika kye Ngabi Nnyunga.