E Ssaza Bulemeezi linywedde mu malala akendo mu nzirukanya n'entambuza y'emirimu gy'Obwakabaka n'obubonero 75
Katikkiro akubirizza abaami okufuba okulaba nga enteekateeka z’Obwakabaka zigguka wansi ku byalo.
Bino abyogeredde ku Bulange bwabadde alangirira e Ssaza erinywedde mu malala akendo mu ntambuza y’emirimu n'okussa mu nkola enteekateeka z’Obwakabaka.
Agambye nti mulimu gwabaami okulaba nga abantu ba Kabaka bafuna empeereza etuukiridde ebayamba okuganyulwa mu Bwakabaka bwabwe.
E Ssaza Bulemeezi lye lisinze n'obubonero 75, ate Gombolola ya Kawuga mu Kyaggwe nerisinga mu Magombolola gonna mu Buganda.