Nnaalinnya lubuga, omumbejja Agnes Nabaloga ng'ali wamu ne Nnaalinnya Nakabiri; Minisita w'Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n'Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, Kkamisona w'Amakaddiyizo n'ebijjukizo mu Gavumenti eya wakati, Omuky. Jackline Nyirachiza Besigye, balambuziddwa omulimu gw'okuzzaawo Amasiro g'e Kasubi we gutuuse.
Enteekateeka ekulembeddwamu Oweek. Kaddu Kiberu, Ssentebe w'Olukiiko oluvunaanyuzibwa ku kuzzaawo Amasiro ng'ayambaddwako Omukugu Jonathan Nsubuga, Katikkiro w'Amasiro Omuk. David Nkalubo, ne Omuk. Albert Kasozi, Ssenkulu wa BHTB.
Okulambula kuno kugendereddwamu okumanya we tutuuse mu kussa mu nkola okusemba kw'abakugu okuva mu UNESCO abaalambula omulimu guno mu mwezi gwa Ssebaaseka n'okwetegekera olutuula olugenda okuba e Saudi Arabia mu mwezi gwa Mutunda.