Oweek Lukwago nga ali n'olukiiko olulondedwa mu kibuli ss
Omukiise w'ekibiina kya Nkobazambogo mu lukiiko lwa Buganda era Omulungamya w'ebibiina by'abavubuka Oweekitiibwa Dr. Lukwago Rashid yakulembeddemu omukolo guno ogw'okukyusa obukulembeze n'okwolesa ebitone, bwabadde akiikiridde Minisita W'abavubuka, emizannyo n'ebitone, Oweekitiibwa Ssaalongo Sserwanga Robert.
Ku Kibuli S.S, Oweek. Lukwago Rashid, akuutidde abayizi okufuba okumanya entandikwa y'e ssomero lino n'ekifo kyalyo mu bwakabaka. Omukolo gwetabiddwako Omukulu w'essomero Hajji Ssemakadde n'abakulembeze b'e Ssomero lino abalala ssaako obukulembeze bw'e ggombola ya Makindye Mutuba III.
Oweek Lukwago nga atongoza sentebe omupya
Bwabadde alayiza olukiiko lwa Nkobazambogo oluggya ku Bishops S.S Mukono, Oweek Lukwago eno akuutidde abayizi okukuuma obuntubulamu kubanga abatandisi b'e ssomero lino bwe ba ssaako essira mu kulitandika.
Omukiise wa Nkobazambogo mu lukiiko lwa Buganda era alungamya Nkobazambogo mu ssomero lino, Oweek. Namukasa Harriet, omukolo agwetabyeko
Olugendo lwe Kyaggwe Oweek. Lukwago Rashid aluwunzikidde ku ssomero lya Mother Kevin Secondary school e Lugazi, gyakumye ekyoto kwasinzidde okutendeka abayizi amakulu g'obugunjufu mu bantu.
E Ssomero lino lyatandikwawo Ssentebe w'akakiiko k'ebyenjigiriza era Omumyuka asooka owa Ssekiboobo, Oweek. Ssennyonjo Moses.
Ssabbiiti ewedde Katikkiro bweyabadde ayogerako eri abakulembeze b'Abavubuka ba Buganda mu bitundu bye Busoga, yabakuutidde okuba abayiiya, abeerufu, abamalirivu, abatema empenda okuvvuunuka ebizibu era abatambula ne bannabwe mu mbeera ey'e ssanyu oba ey'e nnaku.