Obwakabaka bwa Buganda, bukyazizza Ssentebe w'akakiiko k'ebyensanyusa, n'ebyobulambuzi, Hon Henry Maurice Kibalya, wamu n'olukiiko lwe, oluteekateeka olukungaana lwa Pan African Parliament nga baki wamu ne Paalamenti ya Uganda, olulibaawo okuva nga 19th October okutuusa 5th November 2023, mu Kampala.
Boogedde ku kulambuza abagenyi ebifo by'obuwangwa eby'obulambuzi ebiri mu Buganda, oluvannyuma wabeewo okwogera ku buwangwa n'ennono, okunaddirirwa ekijjulo ekinaabeera ku Bulange.
Oweek Noah Kiyimba, nga ye Ssentebe w'akakiiko akateesiteesi ku ludda lw'Obwakabaka, yebazizza Paalamenti ya Uganda olw'okulowooza ku Bwakabaka, ng'ekimu ku bifo abagenyi gyebanaakyala, era n'agamba nti Obwakabaka bwa Buganda bwalina omukono munene nnyo mu kutondawo Uganda, era asuubira buli mubaka anajja ajja kwagala nnyo okumanya ebikwata ku Buganda okutwalira awamu.