Katikkiro nabakozi bobwakabaka nga bakolo duyiro
Obwakabaka bwegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw'Omutima
#WorldHeartDay.
Abaweereza b'Obwakabaka okuva mu bitongole by'Obwakabaka byonna, nga bakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga, bakoze dduyiro ku Bulange okukuza olunaku luno.
Omusomesa omukulu abadde Ssenkulu wa Health Heart Foundation, Oweek Ritah Namyalo, awadde ensonga eziviirako obulwadde bw'omutima, okugeza; obutakola dduyiro, okufuuweeta sigala, obutalya mmere ezimba omubiri, obuteekebeza "pressure", enkozesa embi ey'eddagala erijjanjaba obulwadde bwa Pressure, n'okweraliikirira ennyo.
Katikkiro ategeezezza abaweereza nti okukola dduyiro ssi musono, basaanye okukiddingana basobole okumufunamu.
Abasabye beewale okulya ennyama n'emmere ennyingi nti bino bireeta omugejjo n'endwadde endala, era bwekiba kisoboka ne sukaali bandimwewaze.
Minisita w'Enkulaakulana y'Abantu n'ensonga za Woofiisi ya Nnabagereka, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, akubirizza abaweereza okuzza obuggya emibiri gyabwe nga bayita mu kukola dduyiro n'okwewala okutuula ebbanga eddene ekiviirako emisuwa okwesiba.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, ne Minisita wa Kabineeti Olukiiko, n'ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, nabo beegasse mu kukola dduyiro ono.
Enteekateeka eno yakulembeddwamu Minisitule y'Enkulaakulana y'Abantu nekigendererwa eky'okumanyisa abantu ba Ssaabasajja ebikwata ku kukuuma omutima omulamu
Ekitongole kya World Heart Federation, wamu ne World Health Organisation baagunjaawo olunaku luno mu 1999, olwo ne lutandika okukuzibwa mu mwaka gwa 2000 buli 29 Mutunda.