donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Okukuza Olunaku lw'Abavubuka mu Buganda 2024

Okukuza Olunaku lw'Abavubuka mu Buganda 2024
Image

Owek. Robert Serwanga Ssaalongo ng'ayogerako eri abakulembeze b'Abavubuka

Minisita w'Abavubuka mu Buganda, Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, ng'asinziira mu Bulange e Mengo, atongozza enteekateeka y'olunaku lw'Abavubuka olugenda okukuzibwa nga 16 Museenene omwaka guno mu Lubiri e Mengo.

Minisita alambuludde ebijaguzo eby'enjawulo ebigenda okuteekebwako essira mu kukuza olunaku luno omuli:

  • Omwoleso gw'Emirimu gy'Abavubuka egy'enjawulo,
  • Empaka z'Eggaali z'Amasaza,
  • Ekigwo,
  • Omupiira wakati w'Ebibiina by'Abavubuka eby'enjawulo,
  • Okuvuganya mu nnyimba n'amazina, n'enteekateeka endala.

 

Owek. Serwanga ng'ali n'abakulembeze b'Abavubuka ku Bulange, Mengo

Owek. Serwanga ng'ali n'abakulembeze b'Abavubuka ku Bulange, Mengo

Bino byonna byesigamiziddwa ku mulamwa "Obukugu, Obuyiiya n'Ebitone ku lw'Enkulaakulana y'Abavubuka".

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK