Owek. Robert Nsibirwa ne Omuky. Jane Collyer, eyasiimiddwa King Charles III
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, akulisizza Omuky. Jane Collyer, eyasiimiddwa King Charles III owa Bungereza, n'afulumira ku lukalala olw'abantu abakoze eby'ensonga mu nsi.
Ono yaweereddwa engule ya M.B.E olw'obuweereza mu 'Quantum Hardware and Cyber Security'. Engule y'emu eno eyaliko Katikkiro wa Buganda, Martin Luther Nsibirwa, yagifuna nga 05/02/1937.
Owek. Nsibirwa amwebazizza olw'obumalirivu, okwewaayo mu mirimu, n'obutenyooma ng'omukyala.