
Abamu ku beetabye mu mpaka zino beekubya ekifaananyi nga tebannatandika misinde gy’Amazalibwa ga Ssaabasajja Kabaka mu North of England ne Midlands
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abawangalira mu bbendobendo ly’amawanga ga North of England ne Midlands, nabo olwaleero beetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka, egyabadde mu bibuga eby’enjawulo ebisangibwa mu bbendobendo lino.
Mu kibuga Manchester, misinde gino gyasimbuddwa Omumyuka w’Omubaka Rev. Enock Kiyaga Mayanja e Alexandra Park, era akubirizza abasajja okubeera abasaale mu ku kwasizaako Ssaabasajja mu kaweefube ow’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya bufuuke olufumo omwaka gwe 2030 wegunaatuukira
Mu Liverpool, misinde gyabadde ku Everton Park, nga bakulembeddwamu Omukiise Jennifer Nakakande; ate mu Leeds, gyabadde ku Roundhay Park, nga bakulembeddwamu Omukiise Mabel Kazibwe.
E Coventry, misinde gyabadde ku Memorial Park, nga bakulembeddwamu Omukiise Peter Kasibante; ate e Birmingham, gyabadde ku Cannon Hill Park, nga bakulembeddwamu Omukiise Bewaayo Kiyingi Bbosa n’omukugu Liz Namutebi.