donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okukuuma Omukululo: Katikkiro Mayiga asabye abantu okuwandiika ebitabo

Okukuuma Omukululo: Katikkiro Mayiga asabye abantu okuwandiika ebitabo
Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng'atongoza ekitabo kya Hon. Hajji Mutaasa Kafeero (ku ddyo) e Nakwero

Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng'atongoza ekitabo kya Hon. Hajji Mutaasa Kafeero (ku ddyo) e Nakwero

Abafunye ku ssente muwandiike ebitabo mumanyise abalala olugendo lwammwe olw'enkulaakulana kibongere okukola ennyo. Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu okuwandiika ebitabo ebiraga omukululo gwabwe gusobole okukuumibwa omulungi era n’abalala basobole okubayigirako.

Obubaka buno Kamalabyonna abuwadde atongoza ekitabo ekyawandiikiddwa Owek. Hajji Hassan Mutaasa Kafeero e Nakwero mu Kyaddondo ku Lwomukaaga. Ekyo ekitabo kituumiddwa "Mutaasa Kafeero: His Journey and Family History of the Abajungute."

Owek. Mayiga yeebaziza Mutaasa Kafeero okutambulira mu nnono eyo eya bajjajja be naddala Adam Mutaasa nga awereza nga omwami wa Kabaka ate naye akukoze wakati mu buteebalira.

Bw’abadde atongoza ekitabo kino, Katikkiro yeebazizza Hajji Mutaasa Kafeero olw’okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka mu Ankole n’okutambulira mu buufu bwa bajjajjaabe. Asabye abagagga n’abantu abafunye ku nsimbi bafube okuwandiika ebitabo balage abantu olugendo lwabwe n’engeri gyebaatandikamu okufuna ebirowoozo eby’enkulaakulana olwo bayigirize, basomese ate bakuume n’ebyo bye bakoze.

Yeebazizza Owek. Mutaasa Kafeero olw’okuweereza Kabaka obuteebalira naddala mu kiseera ky’Ettofaali bweyatalaaga Obuganda n’amawanga ag’enjawulo awatali kwe kaanya.

Omukolo gukulembeddwamu dduwa ewombeddwa Sheikh Zubair Sowedi Kayongo, District Khadhi we Wakiso, asabidde Owek. Mutaasa Kafeero Allah ayongere okumukozesa ebirungi ebisinga kwebyo byatuuseeko.

Mu kwogera kwe, Owek. Hajji Dr. Hassan Mutaasa Kafeero, yeebazizza abantu bonna abaamubeererawo mu bulwadde n’abo abatambudde naye mu ntambuza y’obulamu bwe, n’agamba nti ky’amagero nnyo okuba omulamu ku bisomozo byonna byayisemu.

Owek. Hajji Dr. Mutaasa Kafeero (wakati) ng’ayaniriza ababaddewo n’okuwaayo okwebaza ku mukolo gw’okutongoza ekitabo

Owek. Hajji Dr. Mutaasa Kafeero (wakati) ng’ayaniriza ababaddewo n’okuwaayo okwebaza ku mukolo gw’okutongoza ekitabo

Mu kitabo kyawandiise, Owek. Mutaasa Kafeero attottodde olugendo lw’Abajungute n’engeri gyebaasengamu mu Ankole. Agamba nti eky’okuwangaalira mu Ankole tekibajjaako kubeera Baganda era bagoberera ennono n’obuwangwa bw’Abaganda kubanga y’ensibuko yabwe.

Supreme Mufti, Sheikh Shaban Ramathan Galabuzi, akikatiriza nti okuwandiika kulungi kubanga ebiwandiike binywera ate ebyogere byerabirwa. Yebazizza Owek. Mutaasa Kafeero olw’okuwandiika ekitabo ekinaamujjukirwako naddala mu kunyweza obuwangwa bw’Abaganda mu kitundu kye Kigezi, n’agattako nti ekitabo kino kya muwendo nnyo mu buwangwa n’eddiini kuba bisigala ebbanga lyonna..

Yebaziza nnyo ba jjaajja ba Mutaasa abagenda mu Ankole naye nebasigala nga Baganda ate abasiraamu wamu ne Mutaasa Kafeero olw’okutembeeta ensonga z’obusiramu wamu ne Buganda.

Ono ategeezezza nti ekitabo kyawandiise kya byafaayo nnyo kuba kikwata ku nsonga ezenkizo ezikwata ku buvvo bwa jjajja we Adam Mutaasa eyagenda mu Ankole n’alekaayo omukululo gwa Buganda wamu n’obusiramu.

Abakungu ab’enjawulo omuli abakulembeze b’ebika n’abaminisita ba Kabaka beetabye ku mukolo gw’okutongoza ekitabo e Nakwero

Abakungu ab’enjawulo omuli abakulembeze b’ebika n’abaminisita ba Kabaka beetabye ku mukolo gw’okutongoza ekitabo e Nakwero

Owek. Mutaasa agamba nti jjajja we yatendeka nnyo abantu ba Ankole empisa ze Buganda wamu n’enfuga z’Obwakabaka n’abayigiriza emirimu eyali egy’enkizo mu Buganda.

Ono yeebazizza nnyo abantu bonna abamwagadde wamu n’abamubererawo mu biseera ebizibu nga alwadde ekirwadde kya lumima mawuggwe ‘COVID-19.’

Ku lwa famire, muwala wa Mutaasa, Fatumah Nagawa, ayogedde ku kitaabwe ng’omusajja ayagala ennyo abaana be ate akola nabo era abawagira mu misomo gyabwe, mu mirimu gyebakola gyonna.

Omukolo gwetabiddwako omumyuka owookubiri owa Katikkiro, omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda wamu ne baminisita ba Kabaka ab’enjawulo, omukuku we kika kye Nkima Jjaja Mugema, ekibiina kya Baggaga Kwagalana, ekibiina kya Buganda Twezimbe wamu n’abagenyi abalala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK