Abakungubazi ngabali mu kusabira omugenzi.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki atenderezza obuweereza bw'omugenzi Fredrick Lukabwe abadde Ssentebe w'ekibiina ky'olulimi oluganda nakkaatiriza nti obunyiikivu bwayolesezza mu kutumbula olulimi oluganda, obuwangwa, obulombolombo n'ennono bitadde ettoffaali erirabika mu kaweefube w'okuzza BUGANDA ku ntikko.
Amutenderezza olw'obuteekubagiza n'obuteesaasira olw'obulemu ng'abantu abamu bwebakola wabula neyeeyambisa obusobozibwe obwenjawulo okututumuka n'okukulaakulanya Buganda, Uganda n'ekkanisa.
Okwogera bino Minisita Kawuki abadde mu maka g'omugenzi mu kisenyi e Mengo, mu kitambiro ky’emmisa.
Ate omukiise mu lukiiko lwa Buganda atenderezza omugenzi olw'okukuliza abaana mu mpisa ennungi.
Mu kusooka wabaddewo okusaba okukulembeddwamu rev. Fred Tigawalana atenderezza emirimo omugenzi gyakoledde e kanisa.
Wajja kubaawo okusabira omugenzi e Namirembe leero ku ssawa mwenda olwo omugenzi aziikibwe kulwokutaano e Namulonge - Kiwenda.