Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye Omugenzi, Oweek. Haji Mustafa Mutyaba, olw’okuweereza obulungi Nnamulondo n’Obwakabaka, okumala ebbanga eddene, n’aleka omukululo ogw’amaanyi mu byenjigiriza, Amawulire n’okuwandiika ebitabo. Bino bibadde mu bubaka bwe bw’atisse Katikkiro mu kuziika omugenzi olweggulo lwa gyo, e Nakasozi Buddo, mu Busiro. Obubaka bwa Kabaka mu bujjuvu butungiddwa kuno.