Omumyuka owookubiri owa katikkiro, oweek. Robert waggwa nsibirwa, akulembeddemu bannalubaga ne bakola bulungibwansi okwetoloola ennyanja ya kabaka mu ndeeba.
Eno y’emu ku nteekateeka ez’okujaguza wiiki y’Obutondebwensi mu Bwakabaka, ng’entikko y’emikolo ejja kubeera ku mbuga y’eggombolola eya Ssaabawaali e Gombe, mu Kyaddondo, enkya ku Lwokuna nga 27 April, 2023.
Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, asanyuse okulaba nga abantu bajjumbidde okukola Bulungibwansi ono, n’akubirizza abaliranye ennyanja okukomya okugittattana nga bagiyiwamu kasasiro.
Oweek. Haji Amisi Kakomo, Minisita Omubeezi ow'Obulimi, Obwegassi n'Obutale, yeebazizza nnyo bannamikago abawagidde enteekateeka ez’okukuza olukanu lw’Obutondebwensi.

Oweek.Robert Waggwa Nsibirwa nga akulembedde okukola bulungibwansi.
