Obwakabaka bwetabye mu kitambiro ky’emmisa eky'okujjukira Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka.
Ekitambiro kikulembeddwamu Ssaabasumba wa Kampala, Bishop Paul Ssemogerere.
Mu bubaka bwa Katikkiro obusomeddwa Oweek. Patrick Luwagga Mugumbule, Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, atenderezza obumalirivu n'okwagala enfuga egoberera amateeka Ssaabalamuzi Kiwanuka bye yalina.
Katikkiro era agamba nti olunaku luno lukulu nnyo okwefumiitiriza ku nfuga egoberera amateeka naddala okusinziira ne ku bigenda mu maaso mu mawanga nga Gabon, Burkina Faso n'endala.