Omulangira Kassim Nakibinge Jajja w'obusiramu nga atuuka e Kibuli
Ono yakola nnyo okunyweza empagi n'enjigiriza z'Obusiiramu ez'enjawulo mu Uganda, era yalwanirira Obusiraamu okuyimirirawo mu Uganda.
Omukolo gwetabiddwako Omulangira Kassim Nakibinge Jjajja w'Obusiraamu, Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, Omumyuka w'Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Oweek. Hajj. Ahmed Lwasa n'Oweek. Hajj. Amiisi Kakomo.
Omukolo gwabade ku muzikiti e Kibuli era abakulembeze b'Obusiiramu ku mitendera egy'enjawulo, n'abasiraamu bangi okuva mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo bazze ku mukolo guno.
Omulangira ku konno nga ayaniriza Omumyuka wa katikkiro Hajji Twaha Kigongo Kawaase
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo akubirizza abantu okunywerera ku bye bakiririzaamu ng'ekimu ku by'okuyiga ku Mulangira Nuhu Mbogo.
Oweek. Kaawaase agamba nti wakati mu kusoomoozebwa kwonna Mbogo kweyayitamu, yasigala anywerera ku byakiririzaamu, era kino kinnyonyola lwaki yafuuka empagi mu kuyimirirawo kw'obusiraamu mu Uganda. Bwatyo agasse eddoboozi lye ku kusaba kw'okulaba ng'olunaku lw'okujjukira amadda ga Mbogo luteekebwa ku kkalenda ya Uganda lukuzibwenga, nga bwekiri ku Janan Luwum.
Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu asinzidde ku mukolo guno n'akubiriza abantu bulijjo okwewala obutalotalo n'okuneneŋŋana kubanga waliwo abeeyambisa embeera eno bbo okuyisaawo ebyabwe, bwatyo abasabye okuyigira ku Jjajja we Mbogo, eyeewala entalo zonna ze yasanga ng'avudde mu buwaŋŋanguse, ye essira n'aliteeka ku kusomesa ddiini nakugisaasanya mu Uganda yonna, era kuno kwe kwava n'okuweebwa ettaka ly'e Kibuli mu ndagaano ya 1900.
Agamba nti Mbogo yayimirawo nnyo okulaba ng'obusiraamu n'enjigiriza z'Obusiiramu ez'enjawulo biyimirirawo mu Uganda yonna
Omuzikiti gw'eKibuli
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka w'Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Oweek. Hajj. Ahmed Lwasa, Oweek. Hajj. Amiisi Kakomo nga y'abadde Ssentebe w'Olukiiko oluteeseteese omukolo guno, Abataka Abakulu Ab'obusolya, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy'enjawulo, bannaddiini ne bannabyafuzi ab'enjawulo n'abayisiraamu ababaddewo mu bungi.