
Lero, ffenna tuyimirira wamu n’ensi yonna mu kulwanyisa akawuka ka Mukenenya.
Omulamwa gw’omwaka guno: “Okuvvuunuka Amayengo n’Okukyusa Obwongo mu Kulwanyisa Mukenenya.”
Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe, yategezezza nti olutalo olw’okulwanyisa Mukenenya lwetaaga okukwatira awamu. Yagamba nti tewali muntu yenna mu Uganda gw’asisinkanye nga Mukenenya tamuttirangako muntu we. Kino kiraga nti buli omu alina okutegeera, okwekuuma n’okufaayo ku abo abalina akawuka ka Mukenenya.
Ekifo: Bulange Mengo.
Essaawa: 4:00pm.
Tulwanyise Mukenenya.