Gavumenti ya Uganda etenderezza omulimo ogw'ettendo ogukoleddwa Obwakabaka okuzzawo Amasiro ge Kasubi negasobola okujjibwa ku lukalala lw'ebifo eby'obulambuzi ebiri mu katyabaga.
Bino bibadde mu bubaka bw'omukulembeze w'Eggwanga bweyatisse omumyuka owookusatu owa Ssaabaminisita wa Uganda, Rt. Hon. Rukia Nakadaama ku mukolo ogw'okukuza emyaka 60 nga National Commission for UNESCO eweereza mu ggwanga.
Pulezidenti yategeezezza nti ebifo by'obulambuzi byongera kinene ku nnyingiza y'eggwanga noolwekyo kikulu nnyo okubirabirira obutasaanawo.
Ebijaguzo bibadde ku Speke Resort Munyonyo.
Obwakabaka bukiikiriddwa Minisita w'Amawulire, Okukunga, era Omwogezi w'Obwakabaka Oweek Israel Kazibwe Kitooke.
Gyebuvuddeko ekitongole ky'ensi yonna ekivunaanyizibwa ku bifo by'obuwangwa eby'obulambuzi ekya UNESCO, kyasalawo Amasiro g'e Kasubi gaggyibwe ku lukalala lw'ebifo eby'obulambuzi ebiri mu katyabaga bga kyesigama ku maanyi Obwakabaka gebutaddemu mu kuzzaawo amasiro gano oluvannyuma lw'okwolebwa mu mwaka gwa 2010.