donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okugonjoola enkayana mu Buganda.

Okugonjoola enkayana mu Buganda.

Obwakabaka bwa Buganda bulina ebitongole bibiri (2), ebikola ku nkaayana eziba zibaluseewo.

Ekitongole ekisooka kye kya Kkooti ya Kisekwa oba eddiiro ly’embuga ya Katikkiro.

Embuga eno y’egonjoola endooliito mu bika ku lwa Katikkiro. Etuulamu omulamuzi aweebwa ekitiibwa ekya Kisekwa, n’abakiise. Ewuliriza enjuyi zombi, oluvannyuma n’ewa ensala.

Ensala eweebwa Katikkiro, n’agituusa ewa Ssaabasajja Kabaka. Atamatidde ajulira wa Kabaka. Waaliwo n’enkola ey’okujulira ku nsala ya Kabaka mu nkola ey’okukwata mu mmanvu, kyokka eno Kabaka Mutebi II, yagidibya.

Ekitongole ekyokubiri kye ky’Omulamuzi, nga mu kiseera kino, ye woofiisi ya Ssaabawolereza.

Woofiisi eno yeekwanaganya ensonga za Ssemateeka n’Obwenkanya. Ewoza emisango, n’okuwa amagezi ku misango gyonna egiwawaabirwa Obwakabaka, Kabaka oba abakungube mu kkooti za gavumenti eyawakati, egyekuusa ku nsonga z’Obwakabaka.

Image
Obubonero bw'amateeka.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK