Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, atongozza enteekateeka ey'okugolola ebigezo by'ebibiina eby'akamalirizo okuli P7, S.4, S.6, ku Lubiri High School e Mengo.
Okusinziira ku muwandiisi wa Buganda Examination Council, Godfrey Nviiri, enteekateeka erimu abasomesa 116, okuva mu masomero ag’enjawulo, nga basuubirwa okugolola ebigezo by’abayizi 28,231, okumala ennaku 7.
Minisita asabye abasomesa okugolola ebigezo bino mu bwesimbu n’obwegendereza, kuba bisalawo ky’amaanyi ku biseera by’abayizi eby’omumaaso, so ng’ate bye bigezo eby’omwaka ogusembayo mu nsengeka y’ebyensoma enkadde.