Abalungamya b’emikolo babanguddwa ku ngeri ez’enjawolulo ez’okutambuzaamu emikolo gy’okukyala n’okwanjula mu Buganda, mu musomo ogubadde ku Buganda Royal Institute of Business and Technical Education, e Kakeeka, Mengo.
Guno gwe musomo ogw’okuna, nga guggaddwawo Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu, era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke.
Oweek Kazibwe asabye abalungamya bano okukunga bannabwe, beenyigire mu musomo guno, batendekebwe, basobole okukola omulimu guno n’obukugu, nga balungamya bulungi abantu ku ntambuza y’emikolo egyo gitambulire ku nnono.
Abasabye batuuse obubaka n’enteekateeka z’Obwakabaka ku bantu, ate n’abakuutira okwewala okuduumuula ebisale by’obulungamya, kuba kiwa abatalina bukugu omwagaanya okukola omulimu gwabwe.
Ssentebe w’abalungamya, Isma Kaggya, alambuludde ebisomeseddwa okuli enkozesa y'olulimi entongole ku mikolo, entambuza entuufu ey’emikolo gy’okukyala n’okwanjula, entambuza y'omukolo gw'omulongo oba Omulangira oba Omumbejja n’ebirala.
Akulira ebyensoma ku Buganda Royal Institute Ssalongo Apollo Kagwa abakuutidde okuyaayaanira okwongera okumanya, bakuze ekitongole kyabwe.