
Owek. Noah Kiyimba ng’awa Cossy Baagala ekitabo Work and Prosper ekya Katikkiro Charles Peter Mayiga, ng’amukuutira okukisoma okufuna eby’enjigiriza ebirimu
Minisita wa Kabineti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba, asabye abafunye ddiguli okusigala nga bakakkamu era nga beetowaze okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu.
Okwogera bino, Owek. Kiyimba yabadde ku mukolo e Lwadda, Mumyuka Gombe, ogw’okujagulizaako Cossy Baagala eyatikkiddwa ddiguli mu kubala ebitabo okuva ku Ssentendekero e Makerere. Yalabudde nti okufuna ddiguli tekitegeeza nti ensi obeera ogimazeeyo.
Era yasabye abazadde okusomesa abaana baabwe n’okubateekerateekera obulamu obulungi, nga kino kijja kubayamba okutuuka ku nteekateeka zaabwe ez’omu maaso.
Owek. Kiyimba yannyonnyodde nti okuwa abaana obusobozi n’amagezi amatuufu kijja kubayamba okwewala ebisoomoza ebiri mu nsi eno.

Cossy Baagala ajaguza amatikkira ge e Lwadda, wamu n’abazadde be, banne abatikkiddwa, Owek. Noah Kiyimba, ne Rev. Fr. Robert Mayiga, nabo nga bamujaguliza
Mu ngeri y’emu, yasabye Cossy Baagala okwebuuza mu buli kimu ky’akola asobole okutambulira mu mazima era nga tasobya ku nteekateeka ze.
Owek. Kiyimba atusiiza ekirabo kya Katikkiro Charles Peter Mayiga eri Cossy, mwamuwadde ekitabo kye ekya Work and Prosper, n’amukuutira okukisoma asobole okutaputa obubaka obw’enkizo obukirimu.
Ku ludda lwe, omujaguza Cossy Baagala yeebazizza nnyo Katonda wamu n’abazadde be olw’omukisa gw’okumaliriza eby’ensoma nga awangudde ebizibu eby’enjawulo. Era yakubirizza abayizi abalala okufaayo ku kusoma kwabwe, n’okusaayo omwoyo basobole okutuuka ku buwanguzi nga buno.
Omukolo guno gwatandise n’Emmisa ekulembeddwamu Rev. Fr. Robert Mayiga, eyakuutidde Cossy okuwa abazadde be ekitiibwa, kubanga be bamuyambye okutuuka ku buwanguzi buno.