
Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga wakati n’abalunzi b’enkoko mu Uganda ababadde Embuga okweyanjula n’okwebaza Obwakabaka.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abazadde abaliko emirimu gye bakola okugyagazisa abaana baabwe n’okugibayigiriza kibayambe ebyo byebakola okuwangaala ne bwebaba bakuze oba nga bavudde mu Nsi emirimu gireme kusaanawo.
Kamalabyonna Mayiga okwogera bino abadde asisinkanye Ab’ekibiina ekitaba abalunzi b’enkoko mu Uganda ku ‘Poultry Association of Uganda’ abazze Embuga okweyanjula, n’okusaba Obwakabaka okubakwasizaako okutumbula obulunzi bw’enkoko mu Buganda.
“Abayindi ekibayambye okubeera abamaanyi mu by’obusuubuzi kubanga emirimu bagikola n’abaana baabwe, twetaaga tubakoppe, abaana tubalage eky’okukola nga bakyali bato, bakule bayimirizeewo emirimu egibayigiriziddwa” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro mu kwogera kwe, asanyukidde ab’ekibiina ky’abalunzi b’enkoko ng’agamba nti okugoba obwavu mu Ggwanga lyonna, amaanyi galina kuteekebwa ku mirimu abantu gye balinamu enkizo. Annyonnyodde nti Buganda eteeka amaanyi ku by’obulimi n’obulunzi kubanga abantu baayo bye basinga okutegeera. Bwatyo asuubiza abagenyi b’Embuga bano nti Obwakabaka bujja kubawagira mu mirimu gyabwe era awo wennyini akunze abantu okujjumbira okulunda enkoko n’okuzirya wamu n’amagi gaazo.

Ssentebe w’ekibiina ky’abalunzi b’enkoko mu Uganda ng’atuusa obubaka eri Katikkiro.
Mukuumaddamula kyokka akubirizza abalunzi b’enkoko bano okwettanira okukozesa tekinologiya bwebaba nga baagala okufuna mu bulunzi bw’enkoko beeyambise ebyuma ebyanguya emirimu okugeza okugema enkoko, oba okukungaanya amagi, okweyambisa emitimbagano okunoonya n’okutumbula akatale k’ebintu byabwe n’ebirala.
Ye Minisita w’Obulimi, Obulunzi n’Obweggassi mu Bwakabaka Owek. Hajji Amisi Kakomo asinzidde mu nsisinkano eno n’ategeeza nti Ssaabasajja yalagira okujja abantu mu bwavu kikolebwe okuyita mu bulimi n’obulunzi, ng’eno y’ensonga lwaki Obwakabaka butadde amaanyi mu kaweefube wa Emmwanyi Terimba. Ono bwatyo yebazizza abalunzi b’enkoko bano olw’okujja Embuga okugatta ettofaali ku kunnyikiza obulunzi mu Buganda.
Henry Mambwe nga ye ssentebe wa Poultry Association of Uganda asabye Obwakabaka batambule nabo ng’ekibiina mu kutumbula obulunzi bw’enkoko era agamba nti okukolagana n’Obwakabaka kijja kubayamba nnyo ng’ekibiina okutumbula emirimu gye bakola, basomese abantu ba Buganda bakuguke, bafune Ssente era embeera z’abantu mu Buganda zikyuke, olwo nabo bagatte ettofaali ku kuzza Buganda ku ntikko. Bano bawaddeyo n’oluwalo lwa bukadde 9 okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga naye omulunzi era omusomesa ku bulunzi bw’enkoko, mu baddemu Ssenkulu wa BUCADEF, Omuk. Alfred Bakyusa, Mw. Aga Ssekalaala Junior n’abantu abalala.