donate

Choose Language

Select your language

donate

Obwakabaka mu lutalo lw’omusujja gw’ensiri; Katikkiro asaba okugemesa abaana

Obwakabaka mu lutalo lw’omusujja gw’ensiri; Katikkiro asaba okugemesa abaana
Katikkiro ng’atongoza enteekateeka y’okugemesa omusujja gw’ensiri

Katikkiro ng’atongoza enteekateeka y’okugemesa omusujja gw’ensiri

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abazadde bulijjo okutwala abaana baabwe bagemebwe endwadde zinamutta, omuli n’omusujja gw’ensiri, basobole okubeera n’obulamu obulungi nga tebatawaanyizibwa ndwadde.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde nga ali mu kafubo n’abavunaanyizibwa ku by’obulamu mu Bwakabaka e Bulange, Mmengo ku Lwokusatu.

Mu mboozi ye n’abakulira eby’obulamu mu Bwakabaka, Katikkiro yalaze nti amaka mangi gakosebwa endwadde ez’enjawulo, naye omusujja gw’ensiri gukyali waggulu nga gwe gusinga okutulugunya abantu.

Agambye nti omusujja guno bw’ogusensera mu maka, guttattana ebyenfuna kubanga gumalawo ensimbi nnyingi mu kujjanjaba, ate nga gwonoona obulamu bw’abantu bangi okusinga ne mukenenya.

Katikkiro ng’alaga omulamwa gw’okulwanyisa omusujja gw’ensiri nti okugema tekulina bulabe, era kwa bwereere. Asabye abazadde okugemesa abaana abali wakati w’emyezi 6–18

Katikkiro ng’alaga omulamwa gw’okulwanyisa omusujja gw’ensiri nti okugema tekulina bulabe, era kwa bwereere. Asabye abazadde okugemesa abaana abali wakati w’emyezi 6–18

Bwatyo, asabye abazadde okutwala abaana baabwe bagemebwe okuva ku myezi 6 okutuuka ku myaka 2, kubanga eddagala erigema lyatuuse mu malwaliro oluvannyuma lw’okukakasibwa ekitongole ky’Amawanga Amagatte ekikola ku by’obulamu, ekya World Health Organization (WHO).

Katikkiro akinogaanyizza nti Obwakabaka busoosowaza eby’obulamu kubanga olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lwetaaga abantu abalamu era abatataaganyizibwa ndwadde.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK