Katikkiro ng’ayanjula ceeke ku mukolo ogubadde e Mmengo, nga gwetabiddwaako abakungu ab’enjawulo, okuli ne Sipiika wa Palamenti ya Buganda, Owek. Israel Kazibwe Ekitooke, Owek. Choltildah Nakate, n’abalala
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ensimbi ezisoba mu bukadde 200 eri eddwaaliro ly’e Nkozi okwongera okuzimba woodi y’abagudde ku bubenje.
Ensimbi zino zaava mu kyeggulo kya Kaliisoliiso ekitegekebwa Obwakabaka ne CBS FM okuyita mu pulogulaamu ya Kaliisoliiso.
Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasizza ‘cheque’ ya 206,325,000/= eri ab’eddwaaliro ly’e Nkozi. Kamalabyonna alabudde abantu ba Buganda okwegendereza obubenje, naddala mu nnaku enkulu zino ezisembedde.
Owek. Mayiga asinzidde ku mukolo guno mu Bulange, Mmengo, n’ajjukiza abantu nti ebyobulamu by’emu ku nsonga Kabaka Ssaabasajja kw’atadde amaanyi. Ategeezezza nti Obwakabaka bugenda mu maaso n’okuwagira omulimu gw’okuzimba woodi y’abagudde ku bubenje e Nkozi okutuuka nga gugguse.
Katikkiro ng’akwasa eddwaliro ly’e Nkozi ceeke, nga bakulembeddwamu Vicar General w’essaza ly’e Kampala, Msgr. Charles Kasibante, eyakiikiridde Ssaabalabirizi
Kamalabyonna era akuutidde abantu okwewala obubenje ku makubo; obutavuga ndiima, okwewala ettaamiiro n’okugoberera amateeka g’okunguudo kibayambeko okutaasa obulamu bwabwe. Mu ngeri y’emu azzeemu okukubiriza Gavumenti okuteeka obupande bw’okunguudo mu nnimi ennansi abantu ze bateegera obulungi.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa era nga ye Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka ekyeggulo kya Kaliisoliiso, akakasizza nti wabaddewo okugenda mu maaso mu mwaka guno okusinziira nti omwaka oguwedde bakungaanya obukadde 172 ate mu guno ensimbi zirinye okutuuka ku bukadde 200.
Owek. Nsibirwa yeebazizza obumu bw’abantu ba Buganda n’engeri gye bajjumbidde okuwagira omulimu guno, era agamba nti essuubi libeeyongera buli mwaka nti omulimu gujja kumalirizibwa.
Akiikiridde Ssaabasumba Paul Ssemogerere ku mukolo guno, Msgr. Charles Kasibante , yebazizza Obwakabaka olw’okuwagira omulimu gw’okuzimba eddwaaliro lino, era awadde obweyamu nti Ekereziya yakwongera okulondoola omulimu guno okulaba nga gumalirizibwa bulungi. Yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’ettofaali ly’ateeka mu byobulamu, n’asiima ne bonna abavuddeyo okuwagira eddwaaliro ly’e Nkozi.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssentebe w’ekyeggulo kya Kaliisoliiso, ng’awa obubaka bwe eri abo abetabye ku mukolo guno
Ssenkulu wa Centenary Bank, Omuk. Fabian Kasi ku lwa bannamukago yebazizza olw’omukisa ogubaweebwa okuwagira enteekateeka eziyamba abantu, era asuubiza nti bakwongera okuwagira enteekateeka y’ekyeggulo kya Kaliisoliiso era bwatyo akunze abantu abalala bonna okuvaayo ku nteekateeka nga zino.
Ku mukolo guno era kirangiriddwa nti ekyeggulo kya Kaliisoliiso ekiddako kyakubaawo omwaka ogujja nga 3 omwezi ogw’ekkumi (Mukulukusabitungotungo) okwongera amaanyi mu mulimu guno. Kinajjukirwa nti ekyeggulo kya Kaliisoliiso kitegekebwa buli omwaka, Obwakabaka bwa Buganda, Leediyo CBS okuyita mu pulogulaamu ya Kaliisoliiso ne bannamukago okuli Rotary, Centenary Bank n’abalala.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Choltildah Nakate, Abakulira leediyo CBS n’abakozi, Bannalotale, Abakulira eddwaaliro ly’e Nkozi ne Bannamukago ab’enjawulo.