Ekifaananyi ky’Eklezia ya Our Lady of Grace ng’ejaguza emyaka 125 e Nandere, Bulemeezi
Okujaguza emyaka 125 egy’Ekelezia ya Our Lady of Grace e Nandere mu Bulemeezi.
Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, ne mukyala we, Margaret Mayiga, batuuse e Nandere gye baaniriziddwa omusumba w’essaza, Rt. Rev. Lawrence Mukasa, wamu n’Omumyuka Asooka owa Kangaawo, Oweek. Muzaaŋŋanda David Lule Mutyaba, n’abakungu abalala okuva mu Obwakabaka bwa Buganda.
Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, ng’awa obubakabwe mu kujaguza emyaka 125 egy’Eklezia ya Our Lady of Grace e Nandere, Bulemeezi
Mu bubakabwe, Omusumba w’Essaza lya Kasana-Luweero, Rt. Rev. Lawrence Mukasa, yayogedde bw’ati:
"Twebaza nnyo Ssaabasajja Kabaka kubanga bajjajjaabe be baateekawo omusingi omuggumivu eri ekigo ky’e Nandere.
Ssekabaka Daudi Chwa II ye yawaayo ettaka okutudde ekigo kino, era kyataasa nnyo abakkiriza ne okukomya okutindigga eŋŋendo okukima amasakalamentu e Lubaga.
Omusumba w’Essaza lya Kasana-Luweero, Rt. Rev. Lawrence Mukasa, ng’awa obubakabwe mu kujaguza emyaka 125 egy’Eklezia ya Our Lady of Grace e Nandere, Bulemeezi
Bwe kityo, obuweereza bwa Katonda bwabasemberezebwa mu Bulemeezi.
Leero ekigo kino kireze Essaza lya Kasana Luweero okuzaala ebigo ebirala 21, tusiima nnyo enkolagana y'Obwakabaka bwa Buganda n'Ekelezi"