donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bwegasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’Abavubuka abalina obukugu

Obwakabaka bwegasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’Abavubuka abalina obukugu
Owek. Robert Serwanga, Minisita w’Abavubuka mu Buganda, ng’ali n’abakulembeze b’Abavubuka mu Buganda

Owek. Robert Serwanga, Minisita w’Abavubuka mu Buganda, ng’ali n’abakulembeze b’Abavubuka mu Buganda

Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’Abavubuka abalina obukugu (World Youth Skills Day).

Omulamwa gw’omwaka guno guli nti “Okutumbula tekinologiya wa AI n’obukugu bw’ebyuma bikalimagezi mu bavubuka.”

Minisita w’Abavubuka mu Buganda, Owek. Robert Serwanga, alambudde abavubuka abakola emirimu egy’obukugu obw’enjawulo. Atuseeko ku Makerere University Innovation Pod wamu ne Makerere University Information Technology Centre, ng’eno gye bayambibwa okwalula ebirowoozo byabwe, okubizimba, okubitumbula era n’okubissa mu nkola.

Owek. Serwanga agamba nti Obwakabaka bujja kwongera amaanyi mu kutumbula enkozesa ya tekinologiya mu mirimu egikolebwa abavubuka. Minisita yategeezezza nti bagenda kuzimba enkolagana n’ebitongole bino okubangula abavubuka n’okubayamba okuzimba ebirowoozo bye balina basobole okukyusa obulamu bwabwe.

Yagasseeko nti ne mu mwaka guno gw’ebyensimbi ogwakatandika, enteekateeka nga Buganda Digital Hub n’endala zitunuulidde okutumbula enkozesa ya tekinologiya ate mu ngeri ennungi, okwawukanako n’engeri gye babadde bamukozesaamu ensangi zino.

Minisita mu kutambula kuno awerekeddwako abakulembeze b’Abavubuka mu Buganda nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe, munnamateeka Derrick Kavuma.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK