
Oweek. Kaawaase yeebazizza Centenary Bank olw’obuwagizi bwayo eri Abasiraamu mu Ramadan
Obwakabaka bwa Buganda bwebazizza Centenary Bank olw’enkolagana ennungi gy’erina n’abakasitoma baayo, era n’obuwagizi bwayo mu nteekateeka ez’enjawulo ez’obwakabaka.
Okwebaza kuno kukoleddwa Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ku mukolo Centenary Bank mw’esiibululidde Abasiraamu, ogubadde ku Hotel Africana.

Ku kkono: Supreme Mufti Sheikh Galabuzi, Oweek. Kaawaase, Oweek. Ahmed Lwasa, ne CEO wa Centenary Bank, Fabian Kasi, ku mukolo
Oweek. Kaawaase yagambye nti Centenary Bank erina emikago egy’enjawulo n’Obwakabaka, omuli ogw’empaka z’Omupiira gw’Amasaza, ekyeggulo kya Kaliisoliiso, n’enteekateeka endala, era guno gwambye guvuddemu ebibala ebirungi.
Bwe kityo, yakubirizza abantu okwongera okwesiga bbanka eno nga bakolagana nayo mu nkola eya "Akuwa, Naawe Gw’owa.