Minisitule y’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone mu Bwakabaka etongozza enteekateeka y’Emizannyo n’Ebitone awamu n’Abavubuka mu Bwakabaka ey’omwaka 2025.
Enteekateeka eno erambika engeri ebintu ebirambikiddwa bwe bigenda okutambuzibwa mu mwaka ogwo.
Minisita Robert Serwanga Ssaalongo, asinzidde mu Bulange Mmengo okukwasaganya enteekateeka eno, era ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda butadde essira ku kukulaakulanya abavubuka wamu n’okutumbula emizannyo n’ebitone. Era akowoodde abantu ba Buganda okujjumbira n'okuwagira enteekateeka zonna ezitegekeddwa.
Minisita Serwanga agamba nti:
"Nga Minisitule, tuli beetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwatukwasibwa Ssaabasajja Kabaka okulaba nga tuzimba ebitongole byonna nga birina embavu. Mu mwaka 2025, tugenda kuzimbira ku buwanguzi obwatuukibwako mu mwaka 2024, nga tuweereza abantu ba Nnyinimu mu ngeri esinga obulungi."
Annet Nakamya (ku kkono) ne Owek. Robert Sserwanga, ng’akutte kalenda y’nteekateeka y’Emizannyo n’Ebitone ey’omwaka 2025
Enteekateeka enkulu ezitegekeddwa
Enteekateeka eno etongozeddwa atwala Minisitule eno, ku Mmande mu Bulange Mmengo, Owek. Robert Serwanga agambye nti emizannyo gya Enkuyo ne Badminton gigattiddwa ku by’emizannyo ebitegekeddwa mu mwaka guno.
Owek. Serwanga agamba nti emu ku nsonga lwaki bafulumya enteekateeka nga zino nga obudde bukyali kiyambeko okuwa omukisa abo bonna abalina okugyetabamu okweteekateeka obulungi.
Ebirambikiddwa mu nteekateeka:
Empaka z’Emipiira gy’Aggombolola:
- Zisookerwako mu Gatonnya (January) okutuuka nga 30 March 2025.
- Eggombolola eziwerera ddala 175 zezisuubirwa okwetaba mu mpaka zino.
Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka:
- Gigenda kubaawo nga 16 Apuli 2025.
Empaka z’Ebika bya Buganda:
- Zitandika nga 12 Apuli 2025 okutuusa nga 29 May.
Empaka z’Amasaza:
- Zitandika nga 5 July 2025, olwo emizannyo emirala giddeko.
Owek. Robert Sserwanga (wakati) nga atongozza kalenda y’nteekateeka y’Emizannyo n’Ebitone ey’omwaka 2025
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, agambye nti abakulu b’Obusolya bakuteekateeka bulungi bazzukulu babwe okusobola okutambulira awamu enteekateeka eno nga bwetongozeddwa
Omw. Justus Mugisha, Ssentebe w’ekibiina kya Uganda Secondary Schools Sports Association, yeebazizza Obwakabaka olw’okutumbula eby’emizannyo n’okuzza obugumu mu bavubuka.
Annet Nakamya, akulira Uganda Badminton Association, ategezeeza nti basanyufu nnyo omuzannyo guno okugattibwa ku mizannyo eginazanyibwa mu Bwakabaka. Era yeeyamye nti bakufuba okulaba nti batambuza omuzannyo guno gumanyike olwo abantu bagwetanire.
Hajji Sulaiman Ssejjengo, Ssentebe w’Olukiiko lw’Empaka z’Amasaza, ategeezezzanti bakufuba okulaba nga enteekateeka eno etambula nga bwe tongozeddwa.
Baker Ssejjengo, akulira Abavubuka mu Buganda, akunze abavubuka bona mu Buganda okujjumbira e mizanyo jjonna nga bwegirambikiddwa wamu no’bukulembeze ku mutendera gwa magombolola mu Bwakabaka.