donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bwakyaziza omugenyi ow’enjawulo Sarkin Kano, Emir Alhaji Aminu Ado Bayero eyavudde e Kano mu Nigeria

Obwakabaka bwakyaziza omugenyi ow’enjawulo Sarkin Kano, Emir Alhaji Aminu Ado Bayero eyavudde e Kano mu Nigeria
Image

Okuva ku dyo. Oweek. Prof. Kaawaase, Emir of Kano, Alhaji Moses Kigongo.

Sarkin Kano, Emir Alhaji Aminu Ado Bayero, Omugenyi w'Obwakabaka ow'enjawulo eyavudde e Kano mu Nigeria, olunaku lwa ggyo yasembezeddwa ku kijjulo ku "Maya Nature's Resort" e Maya.

Ekijjulo kyategekeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, ng'akabonero ak'okusiima engeri gye baayanirizibwamu bwe baakyala e Kano nga batumiddwa Ssaabasajja Kabaka okwetaba mu mikolo gya "Kano Durbar" mu mwezi ogwa Ssebaaseka omwaka guno, n'okumwebaza olw'okusiima okuwummulirako mu Buganda mu ggandaalo erimalako omwaka.

Emir yasiimye Obwakabaka olw'okumuwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro, gwatambudde naye okuva nga 22 Ntenvu, okutuusa lw'azzeeyo okwaboobwe.

Yasuubizza okudda amangu, n'okuleeta bamusigansimbi okwongera okuvumbula emikisa egy'enkulaakulana egiri wano.

Oweek. Prof. Kaawaase, yeebazizza nnyo Emir, olw'okusalawo okuwumulira wano mu ngeri ey'okunyweza obwaseruganda wakati w'Obwakabaka bwombi.

Amuwadde akatabo akatongole ak'ekitongole ky'Obwakabaka ekikola kukusiga ensimbi (BICUL), akalambika emikisa egiriwo mu kusiga ensimbi mu Bwakabaka bwa

Buganda n'ensonga lwaki 'yinvesita' yenna yandibadde yettanira okusiga ensimbi mu Buganda [Buganda Kingdom, Investment Opportunities].

Image

The Emir wa Kano,Oweek. Prof. Twaha Kigongo nga bali ku kisawe kye enyonyi Entebbe

Kaawaase yeeyamye okulondola ensonga ya bamusiga nsimbi okuva e Kano ne woofiisi ya Emir, ku lw'Obwakabaka, okwongera okukulaakulanya Obuganda n'okutondawo emirimu.

Mu ngeri yeemu, Emir Alhaji Aminu Ado Bayero, yasembezeddwa ku kyeggulo akawungeezi kaggyo mu maka g'Omubaka wa Nigeria mu Uganda.

Ekyeggulo ekyo kyetabidwaako abakulira abatuuze ba Nigeria wano mu Uganda, n'abakulira Islamic University in Uganda.

Olwa leero Emir akomekkerezza obugenyi bwe, n'adda okwaboobwe, e Kano mu Nigeria.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK