Bino byogeddwa Ssaabawolereza w’Obwakabaka era Minisita wa Gavumenti ez'ebitundu, Oweek Christopher Bwanika, bwabadde asisinkanye ekibinja ky'abakungu okuva mu ggwanga lya Australia ku Bulange.
Ekibinja kino kikulembeddwamu Mukyala Tiisa Suzan Mugwanya muzzukulu wa Stanislaus Mugwanya, nga ye mubaka wa Uganda mu Canberra, Australia.
Susan Mugwanya alaze ebirungi ebiri mu Buganda nga okulima emmwanyi, ebifo byobulambuzi, nga bino bisaana okumanyibwa ensi yonna olwo bannamikago nebabimanya nebasikirizibwa okujja okukolagana n'Obwakabaka.
Ssaabawolereza w'obwakabaka oweekitiibwa Christopher Bwanika yebaziza Muky. Tiisa Suzan Mugwanya, olwokuyunga bannamikago ab'ensonga ku Bwakabaka okuli, Kampuni ya Henan Guoji okuva e China, abaapatana omulimu gw'okuzimba amayumba omuli ag'e Kigo ne Ssentema, nga ne kati yawoomye omutwe mu bavudde mu Australia.
Agamba nti bajja kukozesa obumanyirivu bwa Mukyala Marie Ficarra, mu byobukulembeze, ebyobulamu, okwesigamyako ebinaatuukibwako mu nkolagana eno.
Marie Ficarra, eyali omubaka wa South Wales mu Parliament ya Australia, ategeezezza nti obuwangwa bwa Buganda bugagga nnyo, era waliwo obwetaavu obwokubimanyisa abantu abali wabweru wa Uganda era wano webatadde essira.