Eggaali ezaweredwa Abaami ba Kabaka
Obwakabaka bwa Buganda nga buli ne bannamikago buwaddeyo eggaali 70 eri Abaami ba Kabaka abeemiruka mu Ssaza Ssingo mu kaweefube agendereddemu okuyamba Abaami bano okutuuka ku bantu ba Kabaka mu byalo babatuuseeko enteekateeka z'obwakabaka.
Enteekateeka eno ya kuganyulwa Abaami ba Kabaka 300 mu Ssaza Ssingo.
Abaami okuva mu Ggombolola Mumyuka Busimbi, Ssaabaddu Kassanda, Mutuba VII Myanzi, Musaale Bulera ne Mutuba XI Kibiga, bebakwasiddwa obugaali bu maanyi ga kifuba.
Eggaali zino zibakwasiddwa Omwami wa Kabaka ow'ESsaza Ssingo, Oweek. Deo Kagimu ku mbuga y'Essaza Ssingo, n'omulanga eri Abaami bonna okukakasa nti batuuka ku bantu ba Kabaka era beeyambise bulungi e ggaali zino kubanga Ssaabasajja azibawadde kuggusa mirimu n'amakatala mu bantube.
Omukolo gwetabiddwako Abamyuka ba Mukwenda nabakiise ku lukiiko lw'Essaza Ssingo.