
📸 Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja ku dyo nga ali n’aba ECOSAVE ku kono, abakulembeddwamu Mw. Banadda Nswa
Mu kaweefube w’okukuuma obutonde bw’ensi, Obwakabaka bwa Buganda buzizza buggya omukago omulala ne kkampuni ya Ecosave okwongera okusaasaanya enkola y’amasannyalaze agava mu Nakavundira (biogas) mu Masaza 18 ag’enkizo mu Buganda.
Enteekateeka eno, eyatandika mu Ssaza Bulemeezi mwokka, wabula kati yakusaasaanira amasaza gonna, egendereddwamu okuyigiriza abavubuka enkozesa ya biogas awamu n’okumanya okumutunda, n’engeri gye bayinza okugikozesa mu by’obulamu bwabwe, nga mu ngeri eyo bakulemberamu okulwanirira obutondebwensi.
Biogas eno eyambako okukendeeza ku nsimbi ezikozesebwa ku by’okufumba, amataala n’ebirala, n’okwongera ku busobozi mu by’obulimi, omuli n’okufunamu ekigimusa (fertilizer) okuva mu bisu. Era enjiri eno aba Ecosave gye bagezaako okubunyisa mu bantu ba Buganda.
Obukulembeze bw’Obwakabaka ne Ecosave batadde omukono ku ndagaano
Bw'abadde ateeka omukono ku ndagaano eno ku lw’Obwakabaka, Minisita w’Obulungi bw’abantu, Obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, yagambye nti waliwo obwetaavu obw’okufuna abavubuka abasunsuddwa obulungi kubanga abo abaali baasunsulwa mu kusooka besuulirayo gwa naggamba ne beerabira obuvunaanyizibwa bwaabwe.
Yategeezezza nti bagenda kuggulawo amatabi mu buli Ssaza okwanguyiza banna mukago bano okutuuka ku bantu yonna gye bali.
Owek. Hajjat Mayanja yebazizza Ecosave olw’okuyamba mu kulwanirira obutondebwensi mu biseera bino eby’omutawaana ogw’obudde n’enkyukakyuka y’obudde.

📸 Oweek. Hajjati Nkalubo ne Mw. Banadda Nswa nga bateeka omukono ku ndagaana empya
Abavubuka bagenda kufuna obukugu, abantu batandise okuwa obujulizi
Ku ludda lwa Ecosave, Mw. Banadda Nswa, akulembeddemu enteekateeka eno, yayogedde nga bwe basanyufu ku mukago guno n’okweyama okwongera okuteekamu amaanyi.
Yategeezezza nti abantu mu bitundu awatandikidde omugendo guno batandise okuwa obujulizi ku muganyulo oguva mu biogas.
“Abamu bagaziyizza ennimiro zaabwe nga bakozesa ekigimusa ekiva mu biogas, era bayize n’engeri y’okukekkereza ku manda n’ensimbi. Bino byonna biyamba okutuukiriza ekiruubirirwa kyaffe eky’okulwanirira obutondebwensi,” bwe yagambye.