Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Obwakabaka bwa Buganda bwetondedde government n’abantu be Namibia

Obwakabaka bwa Buganda bwetondedde government n’abantu be Namibia
Image

Katikkiro ng'ayogera eri bannamawulire

Obwakabaka bwetondedde eggwanga lya Namibia olw'enneeyisa y'abantu etaali ntuufu Beene bwabadde mukuwummulako mu ggwanga eryo.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asinzidde mu lusisinkana ne bannamawulire mu Bulange e Mmengo nategeeza obuganda n'eggwanga lyonna nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka akomyewo mu ggwanga mu kiro ekikeeseza olwa Bbalaza nga 22 ku saawa 6 nedakiika 40 okuva mu ggwanga lya Namibia gyabadde mu kuwummulako nokulondoolwa abasawo be.

Katikkiro agamba nti Beene yava kuno ng'enaku z'omwezi 21 Mugulansigo okugenda okufuna obujjanjabi mu Bugirimaani era nga 13 ogw'okuna Ow'ek Mayiga yategeeza obuganda ku mayitire ga Maasomooji.

Mukuuma ddamula akinogaanyiza nti ng'omuntu omulala Yenna obulamu bwa Kabaka bwakyaama era busaanidde okuteekebwamu ekitiibwa, wano kamalabyonna wasinzidde najjukiza obuganda ku bubaka bwa Kabaka bweyawa mu kujaguza amatikkira ge ag'amakumi 30 mu Lubiri e Mmengo, obwali alabulab abantube ku balyolyomi abeerimbika mu kwagala obwakabaka okusinga abalala omwaka oguwedde.

Ow'omumbuga kulwa gavumenti ya Beene yettondedde gavumenti y'eggwanga lya Namibia ne bannansi olw'obunkeke obugenyi bwa Nnamunswa bwebuleese mu ggwanga eryo, neyeebaza minisitule yensonga ezeebweru wano mu ggwanga n'ekitebe Kya Uganda mu Namibia olw'enkolagana ennungi n'obwakabaka ebbanga Sseggwanga lyamaze e Namibia.

Image

Obwakabaka bwongedde okulabula obuganda okwerinda abantu batyoboola Nnamulondo era busitukiremu okulwanirira n'okutaasa Ekitiibwa Ky'obwakabaka, .

Katikkiro era yebazizza olulyo olulangira, abaweereza ba Nnyimu, abasawo ba Beene bonna n'obuganda bwonna olw'enkolagana ennungi ebbanga Kabaka lyamaze e Namibia.

Mu buufu obwo Kamalabyonna wasabidde abantu ba Buganda bulijjo okugoberera amawulire agava embuga, ewa katikkiro, Minisita wamawulire, oba omuntu Nnyinimu gwasiimye okuva mu lulyo olulangira, Kamalabyonna ategeezeza nga Beene bwabadde nenteekateeka okudda kubuttaka omwezi mulamba emabega nasambaja ebibadde biyitingana kukudda kwa Nnyimu.

Oluvanyuma lw'emyezi esatu nga tali mu ggwanga, Omutanda akomyewo mu nsi ye era ng'ayaniriziddwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, Nnaabagereka Sylvia Nnaginda, abaana b'engoma n'abakungu abenjawulo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK