Mu kaweefube w’okutumbula eby’obulambuzi byabwo mu nsi yonna, Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekitongole ki Metropolitan Museum of Art, ekitumbula eby’obulambuzi okuva e New York, mu Amerika.
Ssaabawolereza wa Buganda, era Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek. Christopher Bwanika, yaatadde omukono ku ndagaano ku lw’Obwakabaka, so nga Alisa LaGamma, y’ataddeko ku lwa Metropolitan Museum of Art.
Mu nkolagana ebangiddwawo, Obwakabaka buggya kweyambisa omutimbagano gw’ekitongole kino, okwolesa eby’obulambuzi byabwo byonna, kuba gukyalirwa abantu bangi okuva mu nsi yonna.