
Wano oluvannyuma lw’endagaano okuteekebwako omukono
Ekitongole ky'ekibiina ky'amawanga amagatte ekikola ku ddembe ly'abaana nga bano essira baliteeka ku byobulamu bw'omwana n'ekuza ye, n'ebyenjigiriza.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjulidde omukago guno oguteereddwako omukono akulira ekitebe kya UNICEF mu Uganda, Dr. Robin Nandy wamu ne Minisita w'enkulaakulana y'abantu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko.

Katikkiro mu kifaananyi eky’awamu n’abakungu ba UNICEF ne baminisita abalala okuva mu lulyo olulangira
"Obwakabaka tulina enteekateeka engazi mu byobulamu, Kabaka Mutebi II azze akubirizza abantu okugemesa abaana, okubaliisa obulungi, n'okubawa ebyenjigiriza ebirungi, Nnaabagereka ng'ayita mu kisaakaate naye afubye nnyo ku nkuza y'omwana ng'ateeka essira ku buntubulamu" Katikkiro Mayiga
Katikkiro agamba nti omukago guno gulaga nti aba UNICEF basiima enteekateeka z'Obwakabaka mu baana, era agamba nti Obwakabaka bujja kwongera u amaanyi okulaba nti omukago guno guvaamu ebibala.