donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bwa Buganda Busabye Gavumenti Okuggya Omusolo ku Bintu by’Abaliko Obulemu

Obwakabaka bwa Buganda Busabye Gavumenti Okuggya Omusolo ku Bintu by’Abaliko Obulemu
Owek. Noah Kiyimba nga atuusa obubaka okuva mu Bwakabaka.

Owek. Noah Kiyimba nga atuusa obubaka okuva mu Bwakabaka.

Obwakabaka bwa Buganda busabye gavumenti ekomye okuggya omusolo ku bintu ebikozesebwa abantu abaliko obulemu

Okusaba kuno kukoleddwa Minisita w'Olukiiko, Kabineeti n'ensonga za Woofiisi ya Katikkiro mu Buganda, Oweek Noah Kiyimba, bw'abadde yetabye mu misinde egitegekeddwa eddwaliro lya Corsu erijjanjjaba abantu abaliko obulemu n'abamenyese amagumba, egiyindidde ku ssettendekero wa Makerere University Business School e Nakawa wansi w'omulamwa, okuzza essuubi mu baana abaliko obulemu.

Owek. Noah Kiyimba ng’akwasa omuwanguzi ekirabo.

Owek. Noah Kiyimba ng’akwasa omuwanguzi ekirabo.

Minisita Kiyimba agamba nti abantu abaliko obulemu batambulira mu bulamu obutali bwa bulijjo kubanga ebyuma byebakozesa bya buseere, ne mu bifo eby'olukale basanga obuzibu mu kufuna obuweereza naddala mu malwaliro, ebifo ebikyamirwamu, amaduuka, amasomero, awasimbwa ebidduka, okusomoozebwa kuno kudda eri Gavumenti olw'okubinika omusolo omungi ku bikozesebwa abaliko obulemu, nga n'olwekyo esaana ebikozesebwa bino ebikkirize bituuka ku bantu bano awatali kuggibwako musolo, era ne mu mbalirira y'eggwanga omutemwa ku baliko obulemu gwongerweko okusobola okuvujjirira enteekateeka zaabwe.

Ssenkulu w'e ddwaliro lya Corsu e Kisubi, Ochai Robert, agambye nti bategese emisinde gino okusonda ensimbi okujjanjaba abalwadde b'obulemu, okugula ebyuma, okuddaabiriza ebizimbe era omwaka guno beetaaga obukadde 400.

Captain Mike Mukula y'abadde omutambuzi omukulu.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK