Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde mutabani wa Sir Prof. Gordon Wavamunno, Joe Kayima Wavamunno, eyafiira mu ggwanga lya Thailand ku Lwomukaaga lwa Ssabbiiti ewedde, bweyasirittuka n’agwa mu kinaabiro, era ng’aziikiddwa olwaleero.
Joe Wavamunno yali agenze e Thailand ne mukyala we, gwe yali atutte okujjanjabwa.
Obubaka obw’okusaasira okuva e Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga abutisse Omumyuka we Owookubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, nga ono abusomedde e Nakwero, ewaaziikiddwa omugenzi Joe Kayima Wavamunno, eyafiira ku Lwomukaaga nga 14/09/2024 e Thailand.
Mu bubaka buno, Katikkiro asiimye omugenzi olw'okukola obutaweera ate n'obukugu mu kutambuza emirimu gy'ebitongole eby'enjawulo Kitaawe bye yatandikawo era yeebaziza Katonda olw'obulamu bw'amuwadde ne by'amusobozesezza okukola mu kiseera ky'amaze ku Nsi.
Mu ngeri yeemu, Katikkiro yeebazizza Prof. Wavamunno olw’okusiga mu baana be ensigo ey'obukozi n’okubaagazisa Obwakabaka n'Ensi yaabwe okutwalira awamu.
Katikkiro era asaasidde Omutaka Katongole, omukulu w'Ekika kye Ente olw'okuviibwako Omuzzukulu, asaasidde nnyo ab'enju n'abooluganda bonna aba Joe Kayima Wavamunno gw'ambye nti ajja kujjukirwa nnyo, naddala olw'empisa ze, okukolagana obulungi n'abantu n'obwetowaze.
Omukolo gw’okuziika Joe Kayima gwetabiddwako, Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaalinya Sarah Kagere, Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Hajj Ahmed Lwasa, Owek. Christopher Bwanika, Oweek. Daudi Mpanga, Owek. Mutaasa Kafeero, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, abakulembeze mu Gavumenti eyawakati, n’abakungu abalala bangi.