Katikkiro nga ayaniriza eyaliko Pulezidenti wa Nigeria Dr. Goodluck Jonathan
Obwakabaka bwa Buganda bwanirizza eyaliko Pulezidenti wa Nigeria Dr. Goodluck Jonathan, eyasiimye Obwakabaka olw'okutwala abantu baabwo mu nkulaakulana eya nnamaddala.
Ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mbuga ya Buganda enkulu Bulange Mmengo , okubaako enkolagana egunjibwawo wakati w'Obwakabaka n'eggwanga lya Nigeria mu nsonga ezenjawulo.
Dr Goodluck Jonathan azze n’Omukulembeze ow’Ennono ow’Obwakabaka bwa Binin, King Amalate .J .Turner n’abantu abalala abawerako bebazze nabo.
Katikkiro amwebazizza okuba eky'okulabirako eri abakulembeze abalala olwokuleetawo enkulaakulana eyamaanyi ekyafuula Nigeria okusukkuluma ku South Africa ne Misiri mu byenkulaakulana. Era kyakulabirako ku nkyuusa y'obukulembeze kubanga yawummula oluvannyuma lw'ekisanja kye okuggwako.
Olulyo olulangira lukiikiriddwa Nnaalinnya Dinna Kigga, Omumbejja Sarah Katrina Ssangalyambogo, ne Mulangira Felix Muteesa.
Kulw'Obwakabaka, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w'Olukiiko Kabineeti n'ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Minisita w'Ettaka n'ebizimbe, Oweek David Mpanga, Ssenkulu wa Muteesa I Royal University, abakulu b'ebitongole by'obwakabaka n'abaweereza.