donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omugenzi Oweek. Agnes Nabulya

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde omugenzi Oweek. Agnes Nabulya
Oweek. Joseph Kawuki ng’awa obubaka okuva mu Bwakabaka bwa Buganda

Oweek. Joseph Kawuki ng’awa obubaka okuva mu Bwakabaka bwa Buganda

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde ku kufa kwa Oweek. Agnes Nabulya Nkugwa, eyabadde omukiise mu Lukiiko lwa Buganda era nga yakulira ekitongole ky'Abakyala mu Ssaza Ssingo.

Mu bubaka Katikkiro bw’atisse Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, mu kuziika omugenzi ku kyalo Lubanja Central e Mityana mu Ssingo, yasabye abantu ba Beene okufaayo ku bulamu bwabwe.

Yabakuutidde okwekebeza endwadde bulijjo nga bakkiriziganya n’Abasawo, wadde nga tebawulira bulumi ku mibiri gyabwe.

Kamalabyonna yatenderezza omugenzi Nabulya ng’omuntu eyayagalanga ennyo Buganda, omuntu w’abantu, ow’ensonga, era atawankawanka ate ateemalamu ssuubi..

Okuwerekera omugenzi kwakulembeddwamu okusaba okw’enjawulo, nga omulabirizi wa Mityana, Bishop James Bukomeko Ssalongo, yakulembeddemu. Mu kwogera kwe, yalaze obweraliikirivu olw’abantu abafa kyokka emmaali n'Amaka gaabwe ne bisasika.

Minisita avunaanyizibwa ku Butonde bw’ensi, Bulungibwansi n’ekikula ky’Abantu, Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, ye yetise obubaka obuvudde mu lukiiko lwa Buganda, obutenderezza emirimu Oweek Agnes Nkugwa gyakoledde obwakabaka, enteesa ennungi mu lukiiko, obukakkamu n'okuwa babaka banne ekitiibwa.

Oweek. Mariam Nkalubo ng’awa obubaka eri abakungubazi

Oweek. Mariam Nkalubo ng’awa obubaka eri abakungubazi

Ku lwa ba Jjajja Abataka, Omutaka Ssenabulya Juma Kiseyeye okuva mu Kika ky’Engo, mwazaalibwa omugenzi, yasiimye omugenzi Nabulya olw'okwagala ennyo ekika kye. Yagamba nti yabadde mu mu maaso mu kulakulanya Ekika kye, naddala ku butaka bw’ekika e Buteesaasira.

Omugenzi yazaalibwa nga 26/11/1960 era yafudde ku myaka 65.

Mu mwezi guno, Oweek. Agnes Nabulya Nkugwa yetabye ku mikolo gy’Obwakabaka egy’enjawulo, okuli; olunaku lw’Abaana mu Buganda olwaliwo nga 12, Mukutulansanja mu Lubiri e Mmengo, n’omukolo gw’Abakyala be Ssingo ogwaliwo ku nkomerero ya Gatonnya e Ssingo.

Mu bubaka bwe ku mukolo guno nga ssentebe w'Abakyala mu Ssaza Ssingo, yasaba abazadde okulondoola ebyo abaana baabwe bye bateeka ku mitimbagano, kubanga ebbeetu eringi ku mitimbagano livuddemu emitawaana mingi nga emitimbagano gye gikanaaluzaala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK