
Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nga ateeka ekimuli ku sanduuko y’omugenzi
Obwakabaka bwa Buganda busaasidde Omulabirizi Moses Banja olw’okufiirwa mukulu we, Dorothy Namagembe Kasagga.
Obubaka bw’Obwakabaka, Katikkiro abutisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, abusomedde mu Lutikko e Namirembe.
Mu bubaka buno, Katikkiro asaasidde ab’ooluganda n’ab’emikwano olw’okuviibwako omwagala waabwe, era n’asaasira n’Omukulu w’Ekika ky’Embogo, Omutaka Kayiira Gaajuule, olw’okuviibwako muzzukulu we.
“Bakadde bammwe baabagunjula bulungi; ggwe n’ofuuka Omulabirizi, ate n’abalala ne bafuna obuvunaanyizibwa obw’enjawulo, omwali n’omugenzi Vicky Bukirwa Kalibbala eyawaayo obuweereza eri Kabaka mu Buganda Land Board,” bwe yategeezezza Katikkiro eri Omulabirizi Banja.
Kamalabyonna yebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde Dorothy Namagembe, era n’asaba Katonda okugumya abasigaddewo, ate omwoyo gw’omugenzi agulamuze kisa.