
Oweekitibwa Kazibwe Kitooke kudyo nga akwasibwa ekimu kubyuma ebyabaweredwa Dr. Chris Mukiza akulira UBOS
Minisita w'Amawulire n'Okukunga Abantu era Omwogezi w'Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke y'akwasiddwa ebyuma bino ku lw'Obwakabaka era ategezezza nti byakuyamba nnyo Obwakabaka okulaba nti ebibalo ebikuŋŋanyizibwa biteekebwateebwa mu bwangu ate n'okuwa abavubuka emirimu.
Owek. Kazibwe yebazizza aba UBOS ng'agamba nti omukago gw'Obwakabaka n'ekitongole kino bwe gwongera okuvaamu ebibala nga bino, emirimu gitambula kinnawadda.

Wano bebakulebeze okuva mubwakabaka obwenjawulo nga bali ne Senkulu wa UBOS
Ebyuma bino ebiwereddwa n'obukulembeze bw'ennono obulala okubadde; Obukama bwa Bunyoro, Obusinga bwa Rwenzururu, zi ssetendekero za Gavumenti ez'enjawulo nga Makerere, Kyambogo, Busitema n'endala.
Ssenkulu w'ekitongole ki UBOS Dr. Chris Mukiza ategezeeza nti ebyuma bino babigabye okwanguya ku mulimu gw'okukuŋŋanya, era asabye abantu bettanire emitmbagano okumanya ebibalo ebyenjawulo ebifulumizibwa ekitongole ky'akulembera n'aweetaga okuwabula mu nkola y'emirimu babawabule basobole okulongoosa.