Ssenkulu wa Centenary Bank, Mw. Joseph Balikuddembe, Muky. Remmie Kisakye n’oweek Katikkiro.
Ssenkulu wa Centenary Bank, Mw. Joseph Balikuddembe, yataddeko omukono kulwa Centenary Bank, ate Remmie Kisakye nassaako kulw'obwakabaka.
Katikkiro agambye nti nga tuyita mu mukago guno twagala okukulaakulanya abantu nga bakyusa obulamu bwabwe, era twagala obwesigwa bweyolekere mu ntambuza y'omukago guno ku njuuyi zombi abantu basobole okutuukiriza ekigendererwa kyabwe.
Agasseeko nti Obwakabaka buli mu nteekateeka ya kutandikawo emizannyo nga ekigwo ,omweso ssaako n'emizannyo emirala ku mutendera ggwe Ggombolola, tusuubira nti Centenary Bank eyinza okussaamu ssente abantu bakuze ebitone byabwe.
Asabye aba Centenary Bank balowooze nnyo ku kussa ssente mu mizannyo naddala wano mu Buganda kubanga tulina obusobozi bungi okubayambako mu kutuuka gyemulaga.