
Omuwanika wa Buganda – Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’ayanjula embalirira mu Lukiiko lwa Buganda.
Obwakabaka buyisizza embalirira ya buwumbi 305 ey’omwaka 2025–2026. Embalirira eno esomeddwa omuwanika wa Buganda Oweek Robert Waggwa Nsibirwa era n'eyisibwa abakiise mu lukiiko lwa Buganda.
Embalirira eno etunuulidde nnyo okusoosowaza abavubuka mu by’ensoma, obulimi, tekinologiya, n’eby’emirimu.
Ensimbi z'okuvujjirira embalirira eno za kuva mu makubo ag'enjawulo, okuli; obusuulu, envujjo, e kanzu, oluwalo, n'ebbanja eribangibwa Gavumenti.
Ku buwumbi 305, Obwakabaka busuubira okusasaanyako obuwumbi 304 mu kuddukanya enteekateeka ez’enjawulo, okugeza: mmwanyi terimba, okulabirira amalwaliro g’Obwakabaka, okumaliriza okuzimba n’okuddaabiriza embiri za Kabaka, eby’enjigiriza, emisaala gy’abakozi, okunyweza ensonga z’Ebika, n’ensonga endala nnyingi.