
📸 Owek. Prof. Twaha Kaawaase nga atongoza omukago guno ku lw’Obwakabaka
Obwakabaka bwa Buganda butongozza enteekateeka ya Ssemaduuka ezinaayambako abalimi n’abakola obulunzi okufuna ebikozesebwa eby’omulembe ku bbeeyi ensamusaamu.
Enteekateeka eno eyatongozeddwa mu mukago wakati w’Obwakabaka ne Stanbic Bank egendereddwamu okuyamba abantu ba Ssaabasajja okulwanyisa ebintu ebitali ku mutindo ebisangibwa ku katale.
Okusooka, kino kigenda kutandikira mu masaza ga Buweekula, Ssingo, Mawokota ne Buddu.
Ku lw’Owek. Charles Peter Mayiga, Katikkiro wa Buganda, omukago guno gwatongozeddwa Owek. Prof. Twaha Kaawaase, Mumyuka Asooka owa Katikkiro. Yategeezezza nti guli wa nkizo nnyo kubanga gwakuyamba abantu ba Buganda okufuna ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi ebiri ku mutindo, ku bbeeyi ennungi, era nga si biccupule.
Minisita w’Obulimi, Obwegassi, Obusubuzi n’Obuvubi mu Bwakabaka, Owek. Hajji Amiisi Kakomo, yategeezezza nti omukago guno gutunulidde okuzimba zi Ssemaduuka ez’omulembe ezinaatundira ebikozesebwa bino mu ngeri ey’obwegassi, ekigendereddwamu okutumbula obwegassi mu bantu ba Buganda.

📸 Owek. Prof. Twaha Kaawaase officiating the launch on behalf of the Kingdom
Ssenkulu wa Stanbic Bank, Mw. Paul Muganwa, yayogedde nti bbanka yaabwe egenda kwongera okussa essira ku kusaakira wansi ebibiina by’abakyala n’ebibina by’obwegassi eby’enjawulo mu Buganda, mu ngeri ey’okubayamba okwejjuza n’okwekulaakulanya.