Katikkiro nga agulawo olusirika lwa bakulembeze
Olunaku olusoose olw'olusirika lw'Abakulembeze mu Bwakabaka 2024 lukomekkerezeddwa. Olusirika luno lwakumala ennaku bbiri, luyindira ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mmengo nga lukomekkerezebwa nga 26 March,2024.
Bwabadde awumbawumba ebikubaganyiziddwako ebirowoozo olunaku lwa leero,
Kamalabyonna ayogedde ku miramwa egyogeddwako okuli egy'ebyobulamu, n'egy'eby'obuwangwa, agamba nti abazadde bebasinze okuleeta ebizibu ebiri mu mikolo egy'obuwangwa naddala egy'okwanjula, nga bakkiriza ebintu ebitalina kukolebwa, omuli okukkiriza abako okukyuusiza engoye ku buko, abako okuzinira amazina ku buko, abazadde okusaba ebintu ebingi abako byebatalina n'ebiringa ebyo.
Kamalabyonna agambye nti oluusi abazadde basussa okuba abakopi nebatuuka n’okusaba abalenzi abaanjulwa mu maka gaabwe nti basooke okubazimbira n’okubalongooseza ennyumba, kyagambye nti mu mbeera bweti omuzadde abeera talina wayinza kusinziira okukugira ebikyamu ebikolebwa mu mikolo gino nti kubanga abeeranga eyaweebwa ekyoja mumiro.
Bwabadde aggala olunaku olusooka olw’olusirika lw’abakulembeze mu Buganda, agambye nti essira kati lirina kussibwa ku bazadde beetereeze ku nsonga eno, olwo ekitiibwa ky’omukolo gw’okwanjula kikomewo.
Omuk Edward kaggwa owakabaka Foundation nabakulembeze abala mulusirika
Awadde abakulembeze amagezi ag'okufaayo ku bulamu bwabwe nga beegendereza bye balya, n'okukola dduyiro era ayagala obubaka buno babutuuse ku bantu be bakulembera.
Eby'obulamu n'ebyobuwangwa, gye miramwa egikubaganyiziddwako ebirowoozo era gyanjuddwa ba Minisita abatwala Minisitule ezo, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko avunaanyizibwa ku by'obulamu, ne Oweek Dr. Anthony Wamala ow'Obuwangwa, ennono n'Obulambuzi.