Oweek. Cotilda Nakate Kikomeko
Oweek. Cotilda Nakate Kikomeko agguddewo olusiisira lw'ebyobulamu e Butambala ku Kibibi Nursing Home olugenda okumala ennaku 3.
Oweek. Nakate asabye abantu okufaayo ennyo ku bulamu bwabwe naddala nga beekebeza okumanya bwebayimiridde, ayongeddeko nti abantu basaana bulijjo okussa mu nkola ebibagambibwa abasawo.
Abantu nga baze okufuna obujanjabi
Enteekateeka eno ewoomeddwamu omutwe Obwakabaka nga bukolagana n'ekitongole kya Harmony Life Uganda ekikulemberwa Omuky. Anne Dean Mary nga bannamukago bano baasakiddwa Oweek. Esther Nasuuna, Omubaka wa Kabaka mu Ssaza lye Rocky Mountains Colorado.
Abantu baakujjanjabibwa endwadde ez'enjawulo okuli amaaso, amannyo, sukaali, puleesa, kkookolo w'akatungulu n'endwadde endala.